Poliisi y’e Kisoro ekutte omwana, ku bigambibwa nti yabadde mu lukwe ku by’okutta nnyina.
William Tibesigwa myaka 50 yakwattiddwa nga mutuuze ku kyalo Rubanda mu ggombolola y’e Kirundo ku by’okutta nnyina Furidah Rukamba ali mu gy’obukulu 80.
Omulambo gwa Rukamba gwasangiddwa mu ddiru ku Ssande ku makya, omuzzukulu ali mu gy’obukulu 15 eyabadde akedde okutambuza emirimu gy’awaka.
Omuzzukulu yakubye omulanga ogwasombodde abatuuze ne bayita Poliisi era mu kwekebejja omulambo, kyazuuliddwa nti omukyala yatugiddwa.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, agambye nti omutabani Tibesigwa akwattiddwa, ayambeko Poliisi mu kunoonyereza kubigambibwa nti ye n’omugenzi baludde nga balina obutakaanya ku nsonga za famire.
Tibesigwa ali ku misango gya butemu era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kisoro.