Abakulembeze mu Monisipaali y’e Kabale bakoze ekikwekweeto ku Loogi ne Hotero ne bakwata bamalaaya 18 ne bakasitoma baabwe abasajja.

Ekikwekweeto kyakulembeddwamu RDC we Kabale Darius Nandinda n’omuduumizi wa Poliisi e Kabale Brian Ampeire.

Ebifo omwasangiddwa bamalaaya kuliko Boombocha Pub, Standard Hotel, T and J Club mu Monisipaali y’e Kigongi

Ebifo ebyo, bimanyiddwa nti bamalaaya mwe basinzira okutambuza emirimu gyabwe era byetanirwa nnyo baddereeva okuva mu ggwanga erya Kenya.

RDC Nandinda agamba nti abakwate batwaliddwa mu Kalantini okumala ennaku 14 n’okwekebejjebwa obulwadde bwa Kolona.