Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng alabudde abasawo abali mu ntekateeka okuteeka wansi ebikola olwa Gavumenti okulemwa okubawa ebyetaagisibwa okwekuuma okwetangira Kolona nga bali ku mirimu gyabwe.

Minisita Aceng bw’abadde alambula embeera nga bweyimiridde ey’okulwanyisa Kolona mu disitulikiti y’e Masindi, agambye nti yafunye okutegeezebwako nti abasawo bagenda kuyimiriza emirimu gyabwe okutuusa nga baweereddwa ebyetaagisibwa omuli Masiki, giravuzi ssaako n’ebirala, okwetangira Kolona.

Agamba nti newankubadde waliwo okusomozebwa, ebikozesebwa okulwawo okutuuka, abasawo okuteeka wansi ebikola, tayinza kukikirizza kuba kiyinza okulemesa abalwadde okufuna obujanjabi ssaako n’abantu okufa.

Minisita Aceng agambye nti ebikozesebwa abasawo okubula, kizibu kya nsi yonna era asuubiza okuwa buli musawo ebyetaagisa singa bituuka mu ggwanga wabula mu kaseera kano buli omu yandibadde yeyambisa ebiriwo, okuwa abantu obujanjabi.

Webukeeredde enkya ya leero nga Uganda ewezeza abalwadde 100 oluvanyuma lw’okuzuula abantu babiri (2) nga balwadde okuli munnansi wa Kenya ne Eritrea nga bayitidde ku nsalo y’e Malaba.

Kati no, Minisita Aceng alabudde abakyala abasamba ogw’ensimbi okuteeka kufulu ku bitundu by’ekyama, okwetangira baddereeva abayinza okubalwaza nga bali mu kaboozi.

Minisita agamba nti tewali mukyala yenna ayinza okufa lwa butafuna kaboozi wadde mwaka mulamba, era abakyala abalenga omukwano bandibadde balindako.