Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Chahi mu Monicipaali y’e Kisoro era mu disitulikiti y’e Kisoro, maama n’omwana webattiddwa nga batemeddwa ebiso.

Omulambo gwa Chimpaye Agnes myaka 25 ne mutabani we Elijah myaka 2 gisangiddwa mu luggya nga gitemeddwa ebiso ku mutwe, abatemu abatamanyiddwa.

Amangu ddala Poliisi eyitiddwa era mu kunoonyereza okwamangu, abantu babiri (2) bakwattiddwa omuli mulamu w’omugenzi Gasigwa Godfrey myaka 45 ne mutabani we Hamenyimana Moses myaka 23.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Gasigwa aludde ng’alina obutakaanya n’omugenzi omuli n’ensonga z’obulogo.

Maate era agambye nti essaati y’omutabani akwattiddwa, esangiddwaako omusaayi era okunoonyereza kutandikiddewo.

Emirambo gyombi gitwaliddwa mu ddwaaliro e Kisoro okwekebejjebwa.