Abafumbo okuva ku kyalo Kigumba mu disitulikiti y’e Kiryadongo bakwattiddwa ku misango gy’okuyambako mutabani waabwe okusobya ku mwana omuwala myaka 6.
Innocent Oryek Owor ne mukyala we Hope Topista Kunihira nga batuuze ku kyalo Laliya mu ggombolola y’e Laliya mu disitulikiti y’e Gulu baakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olwokutaano ne batwalibwa ku kitebe kya Poliisi e Gulu gye bagiddwa okutwalibwa ku Poliisi y’e Kiryadongo, e Kigumba mu disitulikiti y’e Kiryadongo olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.
Owor n’omukyala Kunihira baasangiddwa Poliisi nga basisinkanye maama w’omwana eyasobezebwako okumuperereza okusonyiwa mutabani waabwe Edwin Asiimwe myaka 20 eyakwattibwa ku misango gy’okusobya ku mwana we mu Gwokusatu, 2020 ali ku poliisi y’e Kiryadongo ku musango gw’okujjula ebitanajja.
Patrick Jimmy Okema, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Aswa agambye nti abafumbo bakwattiddwa ku misango gy’okuyambako mutabani waabwe okusobya ku mwana.
Maama agamba nti yazuula muwala we nti yasobezebwako oluvanyuma lw’okumwekebejja nga yenna atandiise okuvunda ebitundu by’ekyama.