Ekizimbe kya kalina ekibadde kizimbibwa e Kansanga mu Kiwempe mu divizoni y’e Makindye kibuutikidde abantu era kigambibwa abazimbi abasukka 20 bafudde mu kiro ekikeseza olwa leero ku Ssande.

Okusinzira ku ssentebbe w’ekyalo Bogere Twaha, ekizimbe kigudde ku ssaawa nga 5 ez’ekiro era kiteeberezebwa abakozi abasukka 20 babadde basula wansi mu kizimbe.

Twaha agamba nti Gavumenti yakiriza abazimbi okusigala nga bakola era abakozi babadde bazimba emisana, ekiro ne basulawo.

Mungeri y’emu Ssentebbe Twaha agambye nti okuva ku ssaawa 8 ez’ekiro, baakajjayo abantu 3 nga bali mu mbeera mbi n’omulambo gumu wabula eddimu okuyikuula ettaka okujjayo emirambo n’okutaasa abakyali abalamu kugenda mu maaso.

Abamu ku batuuze bagamba nti ekizimbe kibaddemu enjatika ennene era mbu akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, Yinginiya w’ekizimbe yalabudde abakozi obutasulawo wabula olw’embeera ya Kafyu, y’emu ku nsonga lwaki abazimbi abamu baalemereddwa okudda awaka ne basalawo okusula wansi mu kizimbe.

 

Okusinzira ku Poliisi, omuzimbi Kabanda Alex y’omu ku bagiddwayo nga balamu wadde ali mu mbeera mbi era omulimu gw’okuyikuula ettaka kukyagenda mu maaso.

Kabanda atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ne banne.