Kyaddaki Poliisi y’abazinya mwoto eri ku ddimu ly’okuyiikuula ttaka, ku kizimbe ekyagudde ku Lwomukaaga ekiro mu Kiwempe, Kansanga mu Divizoni y’e Makindye, ezudde omu ku bazimbi ng’akyali mulamu.

Azuuliddwa y’e Kenneth Mutala myaka 30 oluvanyuma lwa tulakita, okuyiikuula ettaka era atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago nga beeyambisa ekimotoka ekizikiza omuliro olw’obutabaawo Ambulensi ku kizimbe ku ssaawa kw’azuuliddwa.

Mutala olumugyeyo nga mulamu, kitaawe Edward Tugonza ekubye enduulu ey’essannyu, olwa mutabani we okuzuulibwa nga mulamu era amangu ddala addukiddewo okudda awaka, okubawa amawulire amalungi.

Poliisi era yakazuula emirambo 2 okuli ogwa Busulwa Henry n’omulala ategerekeseeko erya John okuva e Kibuye.

Kigambibwa, ekizimbe kyabaddemu abantu abasukka 20, Poliisi yakazuula 13 nga 9 bafudde era omulimu gwo’okuyiikuula ttaka, kukyagenda mu maaso.

Wabula Omugagga Sulaiman Kabangala Mbuga amanyikiddwa nga SK Mbuga akiikidde poliisi ensigo abali ku ddimu ly’okuyiikuula ttaka, olunnaku olw’eggulo okuyimiriza ku ssaawa 11 ez’akawungeezi ate ne bakeerewa okutandika enkya ya leero nga zigenda mu ssaawa 5.

Agamba nti ekyo, osanga kiviiriddeko abantu abamu okufa, abandibadde bataasibwa.

Vidiyo ya SK Mbuga