Poliisi y’e Bujjuko ekutte omusajja ku by’okutta omukyala we, era yasaangiddwa ng’omulambo aguzinze mu bulangiti, agenda kumuziika.

Ssemaka Byabakama Jackson nga mutuuze ku kyalo Lulumbu mu disitulikiti y’e Mityana yakwattiddwa ku misango gy’obutemu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, kalibutemu Byabakama okukwattibwa, kidiridde okulonda omwana myezi 4 ng’asuuliddwa mu lusuku.

Enanga agamba nti okunoonya bazadde b’omwana, kwekuzuula kitaawe kalittima Byabakama yabadde asse nnyina era yasangiddwa ng’ali ku tekateeka kumwezikira.

Enanga abadde ku media Centre mu Kampala enkya ya leero.

Eddoboozi lya Enanga