Ssentebbe w’ekyalo Kiwempe, Kansanga mu Divizoni y’e Makindye, Bogere Twaha abikudde ekyama nti omugagga Kalanzi Abraham, ye nanyini kizimbe ekyagudde era ali mu ddwaaliro ali mu mbeera mbi, ateekeddwako eccupa z’amazzi oluvanyuma lw’ekizimbe okugwa, ekiro ky’olunnaku Olwomukaaga.

Ssentebbe Bogere agamba nti, omugagga Kalanzi nga mutuuze we Bulenga ssente aziggya mu bya ttaka era olwategeezeddwa nti ekizimbe kigudde, ebirwadde nebituka.

Mu kiseera kino omulimu gw’okuyikuula ettaka okujjayo emirambo kukyagenda mu maaso ku nju eya kalina eyagudde.

Mu kiseera kino omulimu gw’okuyikuula ettaka okujjayo emirambo kukyagenda mu maaso ku nju eya kalina eyagudde.
Kigambibwa, ekizimbe kyabaddemu abazimbi abasukka 20, Poliisi yakazuula 13 nga 9 bafudde.