Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga atabukidde abantu abaatwalira, amateeka mu ngalo ne batulugunya omubaka wa Monicipaali y’e Mityana Francis Zaake eyali akwattiddwa ku misango gy’okuwa abantu emmere mu kitundu kye.
Zaake yakwatibwa okuva makaage ku kyalo Buswabulungo mu Monicipaali y’e Mityana kubigambibwa nti yali agyemedde ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino.

Wabula oluvanyuma lw’okukwatibwa, kigambibwa yatulugunyizibwa ng’ali mu kaduukulu ka Poliisi, ekyavaako okumutwala mu ddwaaliro e Rubaga gye yasiibuddwa.
Wabula sabiti ewedde ku Lwokuna, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga Mario Obiga Kania, mu kuwa Palamenti alipoota ku nsonga za Zaake, yategeeza nti yetuusaako obulabe nga tewali musirikale yamukwatako wadde okumutulugunya.

Kigambibwa Zaake yetuusaako ebiwundu, abantu okumusaasira, okusiiga ebitongole byokwerinda ensiro ssaako n’eggwanga.
Wabula Katikkiro Mayiga bw’abadde awa alipoota y’omwaka, kwebyo ebituukiddwako mu Buganda ng’asinzira mu makaage e Lweza, awanjagidde omukulembeze w’eggwanga okuvaayo ku nsonga za Zaake n’okuddamu okulwanyisa obusosoze mu mawanga.
Mayiga agamba nti waliwo abakungu abenyigira mu kuwa abantu emmere kyokka tebakwatibwangako wadde okugibwako sitetimenti.
Asabye Gavumenti okunoonyereza abantu bonna abenyigira mu kutulugunya omubaka Zaake bakangavulwe okusinga okulinda eggwanga okutabanguka.
Eddoboozi lya Mayiga