Poliisi ekutte ssemaka Owoyesigyire Justus ku misango gy’okusobya ku baana abato.

Owoyesigyire nga mutuuze ku kyalo Kyayi mu ggombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba yakwattiddwa nga ku mulundi, yakutte omwana myaka 6.

Poliisi egamba nti omwana eyasobezeddwako, mukyala we Katushabe Anna yamukkirizza okujja naye mu bufumbo.

Fred Enanga, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga agamba nti omwaka oguwedde, Owoyesigyire yasobya ku mwana mwaka gumu emisango ne bagikweka, okutuusa lw’azzeemu okujjula ebitanajja ku mwama mujjanannyina myaka 6.

Enanga agamba nti ssemaka mulyabuto Owoyesigyire ali mu mikono gyabwe era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Eddoboozi lya Enanga