Poliisi y’e Mukono ekutte abantu 2 ku 5 abenyigidde mu kusobya ku mwana ali mu gy’obukulu 14 oluvanyuma ne bamutta.
Omwana eyasobezeddwako, nattibwa abadde muyizi ku Kibuye Primary School, e Namuganda mu disitulikiti y’e Mukono.
Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti omwana yasangiddwa ng’atambula yekka mu kkubo, abasajja 5 ne bamutayiza ne bamusobyako kirindi oluvanyuma ne bamutta.
Enanga agamba nti Poliisi yasobodde okweyambisa embwa ekonga olusu okukwata abasajja 2 era mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Mukono.
Poliisi ekyanoonya abasajja basatu (3) era ku misango gy’okusobya ku mwana n’okumutta abaliira ku nsiko mu kiseera kino.