Abakulembeze mu Kampala, basabukuludde entekateeka empya, okulongoosa ebyentambula mu Kampala mu kiseera kino ng’abantu bali ku muggalo olwa Covid-19, bagenda okudda nga buli kimu kirongoseddwa.
Mu nkyukakyuka eziri mu kuteesebwako, ebintu 7 binokoddwayo, okulongoosa omulimu gwa Takisi ne Bodaboda mu Kampala yonna.

Okusinzira ku Minisita omubeezi owa Kampala Benna Namugwanya Bugembe, balina okuwandiisa abantu bonna abali mulimu gwa Takisi ne bodaboda mu Kampala ssaako n’okubawa enamba, okuteekawo ppaaka ne siteegi ezimanyiddwa, okuleeta bbaasi mu Kampala na buli muntu yenna ali mu byentambula okufuna yunifoomu.

Mungeri y’emu agambye nti bodaboda zigenda kudda ku nkola ey’omutimbagano n’okuweebwa enguudo, zebalina okutambulizaako emirimu.
Minisita Namugwanya mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala agambye nti mu kiseera kino bali mu kwebuuza ku bantu ku nkyukakyuka ezo omuli abakulembeze ba Takisi, bodaboda, abakulembeze mu Kampala, abasabaze na buli mu yenna, agwanidde okuwabula.