Ssemaka Alex Tumusiime nga mutuuze ku kyalo Bugashe cell mu ggombolola y’e Nyakayojo mu disitulikiti y’e Mbarara akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Tumusiime myaka 40 yasobeza ku mwana myaka 4.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira Tumusiime yakwattiddwa okuva ku kyalo Rwentondo gy’abadde yekwese oluvanyuma olw’okabasanya omwana nga 3, omwezi guno Ogwokutaano.

Alipoota z’abasawo ziraga nti omwana yasobezeddwako ate omusajja akebeddwa nga ye mulwadde wa siriimu.

Maama w’omwana agamba nti yali atambuddemu yagenda okudda nga muwala we akulukuta musaayi mu bitundu by’ekyama era yali akaaba nnyo.

Tumusiime atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mbarara ku musango gw’okujjula ebitanajja.

Alipoota ya Poliisi mu kitundu ekyo eraga nti mu bbanga lya myezi 3, abaana 10 basobezeddwako.