Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Henrietta Wolayo, alagidde Gavumenti okusasula omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ku misango gy’okutyoboola eddembe lye.

Omulamuzi Wolayo agamba nti nga 21, September, 2017, Poliisi yamenya amateeka okuyingira mu maka ga Lukwago ku kyalo Bulwa mu Divizoni y’e Rubaga nga tefunye lukusa.

Mungeri y’emu omulamuzi agamba nti engeri Lukwago gye yakwatibwamu omuli n’okumunyiga ebitundu by’ekyama, yatyoboola ekitiibwa kye mu maaso ga kamera n’okumulumya era y’emu ku nsonga lwaki yalajjana nnyo olw’obulumi.

Omulamuzi alagidde Gavumenti okuwa Lukwago obukadde 50 kwebyo ebyamutuusibwako nga bityoboola eddembe lye n’okutwalira amateeka mu ngalo.

Poliisi yakwata Lukwago bwe yali emutangira okufuluma mu makaage mu biseera bya Togikwatako nga kigambibwa nti yali agenda kumenya mateeka.