Omusajja eyali mu katambi ng’atimpula jjajjaawe emiggo, asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka musanvu (7) ku misango gy’ogezaako okutta omuntu.

Brian Okello ali mu gy’obukulu 30 nga mutuuze ku kyalo nga mutuuze ku kyalo Ongako mu disitulikiti y’e Omoro yasindikiddwa mu kkomera.

Okello alabikira mu katambi ng’akutte kibooko atimpula jjajjaawe Lucy Anek ali mu gy’obukulu 83 emiggo.

Akatambi, kaatabula abantu ab’enjawulo ku mitimbagano omuli Facebook omuli abakulembeze olwa jjajja Anek eyali akaaba ng’alajjana okumutaasa nga 12, omwezi oguwedde Ogwokuna ku kyalo Amilobo mu ggombolola y’e Ongako mu disitulikiti y’e Omoro.

Amangu ddala Poliisi yakwata omuzukkulu Okello era mu kkooti Gulu ebadde ekubirizibwa omulamuzi Francis Matenga, Okello akirizza omusango, kwe kutegeeza nti yakuba jjajjaawe emiggo kuba yali agaanye okumuwa ssente.

Omulamuzi mu kuwa ensala ye, awadde Okello emyaka 7 egy’okusibwa kuba akirizza omusango nga kikoleddwa okuzaamu abaana empisi eri abantu abakulu.