Minisitule y’ebyemirimu n’ eby’entambula esabukuludde entekateeka empya okukendeza ku muwendo gw’ebizimbe ebigwa nga kivudde ku nsonga ezitali zimu.
Ekyama, kibikuddwa amyuka omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Polly Namaye, mu kwogerako eri bannamawulire ku Media centre mu Kampala enkya ya leero.
Namaye agamba nti Minisitule, eragidde bassentebbe ku byalo okuwandiisa buli muntu yenna agenda okuzimba, abakozi, Kampuni ssaako ne bayinginiya nga balina okwekeneenya ebiwandiiko byabwe mu nnaku 14 zokka, okubakkiriza oba okubagaana okuzimba.
Namaye agamba nti entiisa eyagudde mu Kiwempe mu Divizoni y’e Makindye, Kalina eyagudde n’etta abantu 13 y’emu ku nsonga lwaki bassentebbe, baweereddwa obuyinza ku bizimbe ebizimbibwa mu bitundu byabwe.
Minisitule egamba nti okuwandiisa abakozi, kigenda kuyamba nnyo okutegeera omuwendo gw’abantu abali ku ddimu ly’okuzimba n’okuyambibwa, singa wagwawo akabenje omuli ekizimbe okuyiikamu.