Poliisi y’e Kamwenge, atandise okunoonyereza ku ngeri ssemaka gy’attiddwamu nga busasaana enkya ya leero.

Omulambo gwa Amos Tugume ali mu gy’obukulu 60 abadde omutuuze ku kyalo Kihura ward mu Tawuni Kanso y’e Kahunge gusangiddwa abatuuze ku makya, abakedde okutambuza emirimu, nga gwasuuliddwa mu kasiko ebbali w’ekkubo.

Okusinzira kw’akulira Poliisi y’e Kamwenge Mable Tweheyo, Tugume abadde yatemeddwako omutwe era kigambibwa abatemu, baasobodde okweyambisa ekiso.

Mungeri y’emu Tweheyo agamba nti emputtu y’abantu ne basigala nga batambula mu ssaawa za kafyu y’emu ku nsonga lwaki Tugume nga kiteeberezebwa yasangiddwa ng’atambula obudde obw’ekiro, abatemu okumutta n’okutwala ebintu bye.

Ate Medard Twinomuhwezi, neyiba w’omugenzi ali mu kutya era awanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okunoonya abatemu abenyigidde mu kutta mukwano gwe.

Twinomuhwezi agamba nti omugenzi abadde muntu w’abantu, nga kyewunyisa ate okuttibwa.