Poliisi erabudde abali ku ddimu ly’okutambuza abantu ku bodaboda ssaako ne Takisi okuva mu nzigota okubaleeta ku makkubo, buli kawungeezi nga beeyuna essaawa za Kafyu.

Okusinzira ku Poliisi, bakoze okunoonyereza nga waliwo bodaboda ezitambuza abantu ssaako ne Takisi, ekintu eky’obulabe, ekiyinza okutambuza obulwadde bwa Covid-19.

Embeera eyo, yeeviriddeko ekitongole ky’amakkomera okwetekateeka okwaniriza buli muntu yenna agenda okukwatibwa ku misango gy’okutambula mu ssaawa za Katyu n’okusabaza abantu mu ssaawa z’akawungeezi.

Frank Baine, omwogezi w’ekitongole ky’amakkomera mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, agambye nti bazudde nti bantu batambulira mu takisi ne bodaboda wakati w’essaawa 10 ne 11 n’ekitundu.