Omuyimbi Julian Kanyomozi alaze nti mukyala wanjawulo nnyo ku ngeri gyakolamu ebintu bye wadde y’omu ku basereebu mu Uganda.
Ekiro ekikeseza olw’aleero ku Lwokuna, Juliana yewunyisizza abawagizi be okulaga ensi nti yazadde omwana omulenzi, ekiraga nti akoze kya maanyi okukweka olubuto mu bawagizi be.
Ku mukutu ogwa Face Book, Juliana alaze nti omwana we ye Taj era mbu yamuzadde nga 12, May, 2020, “IT’S A BOY!!!! Say hello to Taj 12-05-2020. We are thrilled!!. To God be the glory“.

Oluvanyuma lwa Juliana okulaga ensi omwana, omu ku bawagizi be Kasule Douglas Benda, agambye nti Juliana agwanidde okuwandiika ekitabo, “HOW TO KEEP YOUR PREGNANCY A SECRET TIL YOU GIVE BIRTH“, okuwa abantu amagezi ku ngeri y’okukweka ebyama nga bali lubuto, kuba kigenda kutunda nnyo, “Juliana please publish a book called “HOW TO KEEP YOUR PREGNANCY A SECRET TIL YOU GIVE BIRTH!” I swear we shall buy! Ehhhhhhhh even the people who have been around you for the last 9months deserve medals next heroes day. They should be abawandiisi ab’ekyaama. Congrats. The world is happy“.

Ku nsonga za bba (taata w’omwana), omu ku bantu abagaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti, “ky’olina okumanya bba wa Juliana musajja mugagga nnyo mu ggwanga era kigambibwa akola mu Gavumenti kyokka tayagala mawulire era y’emu ku nsonga lwaki kiyinza okuba ekizibu Juliana okumulaga ensi“.
Juliana agamba nti yazaalibwa nga 27, November, 1980 nga mu kiseera kino alina emyaka 39.
Kinnajjukirwa nti mutabani we Keron Raphael Kabugo yafa mu July wa 2014 era kimutwalidde emyaka 6 okufuna omusajja agwanidde okumuzaalamu.