Palamenti, erangiridde obutasukka nga 27, omwezi guno Ogwokutaano, abakiise ba Palamenti bonna okuwaayo ensasaanya y’obukadde 20 ezabaweebwa, okuyambako mu kulwanyisa Kolona mu disitulikiti zaabwe.
Okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Kalaani wa Palamenti Jane Kibirige nga 12, omwezi guno, akakiiko akaddukanya emirimu gya palamenti aka (parliamentary commission), bakanyizza, buli mukiise wa Palamenti, okutwala ensasaanya ku ssente ezamuweebwa eri Kalaani wa Palamenti.
Mu kiwandiiko, abakiise ba palamenti abatannaba kusasaanya ssente ezabaweebwa, balagiddwa okuzitwala ku disitulikiti mu kakiiko akalwanyisa Kolona oba okuzizaayo eri Palamenti, obutasukka nga 27, omwezi guno.
Ekiwandiiko kigenze okufuluma, ng’ebbaluwa y’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eraga nti Palamenti yazimuula kabinenti ne batwala ssente Biriyoni 10 okuva ku bajjeti y’enyongereza ezaali Biriyoni 304 ez’okulwanyisa Kolona mu ggwanga nga tewali kufuna lukusa.