Omuyimbi eyeegwanyiza obwa Loodi Meeya bwa Kampala Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr. Jose Chameleone avuddeyo ku ntekateeka za bakulembeze mu Kampala, okulongoosa eby’entambula mu kibuga omuli aba Takisi ne Bodaboda.
Ku ntandikwa ya sabiti eno , abakulembeze mu Kampala bakirizza nti waliwo ekiwandiiko ekyasomolwa mu offiisi, nga bakyateesa ku ngeri y’okulongoosa eby’entambula mu Kampala.
Ebimu kwebyo ebiri mu kiwandiiko, balina okuwandiisa abantu bonna abali mulimu gwa Takisi ne bodaboda, okubawa ennamba, okuteekawo ppaaka ne siteegi ezimanyiddwa, okuleeta bbaasi mu Kampala, na buli muntu yenna ali mu by’entambula okufuna yunifoomu.
Mungeri y’emu bodaboda zigenda kudda ku nkola ey’omutimbagano n’okuweebwa enguudo, ze balina okutambulizaako emirimu.
Wabula Dr. Chameleone agamba nti entekateeka zonna ezireetebwa, ezigeenda okulongoosa eby’entambula mu Kampala, tezirina kuggyako bantu mirimu.
Chameleone agamba nti embeera yonna, abantu balina okusanyusa nga basigaza emirimu wabula si kuteekawo mbeera ya kubasiindikiriza.
Mungeri y’emu agambye nti abakulembeze mu Kampala basukkiridde obugayaavu mu kitongole ki KCCA nga y’emu ku nsonga lwaki, waliwo omukyala eyagwa mu mwala ku bitaala bye Nakawa, olw’emyala obutazimbibwa n’ebinnya obutabikibwako.
Agamba omukyala okufa, kyaava ku bunafu bw’ekitongole ki KCCA.
Omukyala Cissy Namukasa eyafa yali mutuuze we Kitintale era kigambibwa nti yali akedde kusuubula.
Mukwano gw’omugenzi Gertrude Lukwago myaka 50, agamba nti bakyanoonya era balina essuubi, okulaba omulambo gw’omuntu waabwe.
Vidiyo