Omuyitale Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ali mu maziga era agamba nti waliwo abantu abaagala okumutta olwa ssente ze n’emikisa.
Bryan White agamba nti omutegesi w’ebivvulu Balaam Barugahara y’omu ku bantu abaagala okumutta olwa ssente ze.
Mungeri y’emu agamba nti tayinza kuddamu kwesembereza omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu State House kuba y’emu ku nsonga lwaki abantu bagamba nti ‘Bamafia’ baagala kumutta.

Bryan White agamba nti yali akozesa ssente ze okuyamba abantu kyokka Balaam ne banne bali balowooza nti ziva wa Pulezidenti Museveni era y’emu ku nsonga lwaki bakola ebintu eby’enjawulo okumulwanyisa mu mbeera yonna.
Bryan agamba nti ssente aziggya mu ggwanga erya Bungereza oluvanyuma lw’okusikira ebintu ebyali ebya nnyina eyafa.

Wabula Balaam agamba nti ye si mukozi mu State House era talina ngeri yonna gy’ayinza kulemesa muntu yenna kusisinkana Pulezidenti Museveni.
Balaam agamba nti talina buzibu bwonna ne Bryan White era yewuunya lwaki amwogerera amafuukuule.