Dr Stella Nyanzi ng’ali wamu n’omutegesi w’ebivvulu Ssaalongo Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo n’abantu abalala bakwattiddwa Poliisi mu Kampala, webakedde okwekalakaasa nga bawakanya engeri y’akasoobo, Gavumenti gy’ekuttemu ensonga y’okuwa abantu emmere abali mu bwetaavu, abali ku muggalo olwa Covid-19.
Nyanzi, Bajjo ne banne bakwattiddwa okumpi ne kkooti ya Buganda Road nga batambula okwolekera offiisi ya ssaabaminisita okwebuuza lwaki Gavumenti ensonga y’okuwa abantu emmere egikutte kasoobo nnyo.
Mu kiwandiiko kyabwe, bagamba nti bangi ku bannayuganda tebanafuna mmere nga boolekedde okufiira mu nnyumba olw’enjala.
Bagamba, Gavumenti okulemesa abakulembeze ku byalo omuli ne Bannadini abategeera obulungi abatuuze ku byalo ne basalawo okweyambisa aba LDU n’abasirikale b’ekitongole ky’amakkomera y’emu ku nsonga lwaki omulimu gutambula kasoobo nnyo.
Dr. Nyanzi nga yakulembera ekibiina ky’obwanakyewa ekya “The Women’s Protest Working Group” agamba nti omuggalo guyamba abo abalina ku ssente omuli abali ku ddimu ly’okuzimba ebizimbe byabwe, amakkolero, abatambuza ebyamaguzi nga bangi ku bannayuganda abantu ba wansi bali mu mbeera mbi.
Mungeri y’emu basabye Gavumenti okulowooza eky’okuyamba bannayuganda abasobeddwa abali mu nsi z’ebweru nga tewali kusosola kwani ateekeddwa okudda.
Ate ku nsonga ya Kafyu, bagamba nti ye ssaawa Gavumenti okwongezaayo obudde okuva ku ssaawa 1 ey’akawungeezi okudda ku ssaawa 3 ez’ekiro n’okuwa buli munnayuganda Masiki, okwekuuma nga bavudde awaka.
Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano ASP Luke Owoyesigyire, essimu ye teriko okulambulula ku nsonga ya Nyanzi, Bajjo ne banaabwe.