Minisitule y’ebyobulamu ezudde abalwadde ba COVID-19 abalala 21 okuva mwabo 1,071 bavuzi b’ebimotoka nga batambuza ebyamaguzi abaakebeddwa.
Kati Uganda ewezeza omuwendo gw’abalwadde 248.
Abazuuliddwa nga balwadde bano bonna bannayuganda abayingiridde ku nsalo ez’enjawulo omuli, Elegu, Mutukula ne Malaba.
Ate bo abantu 253 abaakebeddwa mu bitundu eby’enjawulo basangiddwa nga balamu.

Okusinzira ku Dr. Henry Mwebesa, akulira eby’obujjanjabi mu minisitule y’ebyobulamu, balina okuteeka mu nkola ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga obutakkiriza ddereeva yenna nga mulwadde kusala nsalo, kuyingira mu Uganda.
Mungeri y’emu agambye nti balina okwekebejja buli ddereeva ali ku ddimu ly’okutambuza ebyamaguzi nga bannayuganda abanazuulibwa nga balwadde, bakutwalibwa mu malwaliro gaffe ag’enjawulo ate abagwira okuli bannansi ba Tanzania, Kenya, Burundi, South Sudan n’abalala, singa bazuulibwa nti balwadde teri kubakkiriza kuyingira Uganda.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 57 abali malwaliro nga bali mu mbeera nungi ate yaakasiibula abantu 63 nga bajanjabiddwa.