Omusawo omukugu aguddwako omusango gw’okuyambako omwana omuto okugyamu olubuto.
Dr. Fredrick Kato, 54 nga mutuuze ku kyalo Kyamabale mu disitulikiti y’e Buikwe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti Lugazi era aguddwako omusango gw’okuwa omwana ebiragala okugyamu olubuto.
Dr. Kato omusango agwegaanye era ayimbuddwa kakalu ka kkooti ka bukadde bwa ssente 3 ezitali za buliwo.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 18, February, 2020, Dr. Kato ng’asinzira ku kyalo Vuluga mu disitulikiti y’e Buikwe, yakuba omwana Nabuzaale Scovia, 19, empiso n’ekigendererwa eky’okumugyamu olubuto.
Kato wakudda mu kkooti nga 10, June, 2020 era singa omusango gumusinga, ayolekedde okusibwa emyaka 7.
Ate omwana Nabuzaale aguddwako omusango gw’okuggyamu olubuto.