Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti alina ‘Work’ era y’emu ku nsonga lwaki bangi ku basajja bamwegomba n’okumuwagira mu kisaawe ky’okuyimba.
Jazmine y’omu ku bayimbi abawala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba mu kiseera kino olwennyimba ze omuli Sing for Me, Masuuka, Olindaki, Ebintu Byange n’endala.

Mu kiseera kino ng’abantu bali ku muggalo, Jazmine atadde ekifaananyi kye ku mukutu ogwa Instagram era bangi ku basajja basigadde mu bikemo.

Mu kifaananyi, Jazmine alaze nti yekubye ‘tattoo’ ku kisambi okumpi ne vuvuzera kyokka ekitabudde abantu ‘tattoo’ yefaananyirizaako akamenke.
Mungeri y’emu alaga nti alina ‘tattoo’ ne ku mukono, ekiraga nti mukyala atambulira ku mulembe.