Kyaddaki ekitongole ky’amakkomera kisambaze ebyokwerwa nti bangi ku bantu abakwattiddwa ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga omuli okutambula mu ssaawa za Kafty, batulugunyizibwa mu makkomera gye bali.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekyo Frank Baine, abasibe abasajja bali mu kkomera lye Kitalya ate abakyala mu kkomera e Kigo era tewali musibe yenna ali mu mbeera mbi.

Baine agamba nti ebyogerwa nti waliwo abasajja abali mu kkomera lye Kigo, abalajaana olw’abasirikale okubatuntuza, bikyamu era bigendereddwamu okusiiga enziro ekitongole ky’amakkomera.

Ku nsonga y’amazzi ageeyongera, okuyingirira abantu abali mu ntobazi ne kumbalama z’ennyanja, Baine alabudde abatuuze okwerinda ku bisolo ebyolekedde okubayingirira omuli n’emisota.

Kyokka alabudde nti singa balaba ekisoro kyonna ku miryango gyabwe, tebalina kukitta wabula okuyita abakozi abavunaanyizibwa ku nsonga z’omu nsiko okubitwala.

Eddoboozi lya Baine