Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akooye abantu okumuyisaamu amaaso ng’ali ku mirimu gya Kabaka okuzza Buganda ku ntiiko.
Mayiga omwezi guno yawezezza emyaka musanvu (7) bukya akwata ddamula mu 2013 wabula wakati mu bukulembeze bwe, waliwo abantu abamulumbagana ku nsonga ez’enjawulo.
Abamu ku bantu abagamba nti Katikkiro Mayiga alemeddwa, kuliko eyaliko omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku nsonga z’ebyamawulire Joseph Tamale Mirundi, Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda n’abalala wano mu Buganda.
Mirundi ng’ayita ku mikutu egy’enjawulo omuli TV, Laadiyo n’obutabo, agamba nti ku mulembe gwa Mayiga, Kabaka atwaliddwa mu kkooti ku misango egy’enjawulo omuli ne munnamateeka Male Mabirizi ku nsonga z’ettaka, akabonero akalaga nti Obuganda buweddemu ekitiibwa.
Mungeri y’emu agamba nti Katikkiro Mayiga y’omu ku Bamafia abali mu ggwanga abenyigidde mu kubba abantu ssente nga yeerimbise okuzza Buganda ku ntikko mu nkola y’ettofaali.
Ate Gashumba agamba nti Katikkiro Mayiga muntu wa bantu nga kiswaza okutambulira mu motooka z’obugombe n’okumuwa abakuumi b’emmundu.
Gashumba agamba nti Mayiga asukkiridde okwagala ebitiibwa ate nga muntu wa buligyo nga kiswaza abasirikale abamukuuma okumufukamirira, ebintu ebiswaza Obuganda.
Wabula Katikkiro Mayiga avuddeyo ku nsonga z’abantu abalemeddeko okumulumbagana mu bukulembeze bwe.
Bwe yabadde ku NTV, Mayiga yagambye nti, abantu abamusiiga enziro batono nnyo wabula boogera nnyo ate waliwo n’abantu abawulira ennugu olw’enkulakulana etuukiddwako e Mmengo ku mulembe gwe.
Mungeri y’emu agamba nti waliwo abamenyi b’amateeka abasasulwa ssente okumuvuma kyokka ye ali ku mulamwa gwa kuzza Buganda ku ntikko.
Agamba nti yalibadde alina okutya singa bangi ku bantu tebamwagala kyokka ekirungi bangi mu Buganda ne Uganda yonna basiima emirimu gye, “The people who throw dirt at me are not many, they are few but they like to talk all the time. There are also people who do not want to see progress like the one we have made at Mengo, it’s modest but it creates an impact. Criminals who don’t work are bribed to abuse me. I feel sorry for these criminals. I would be concerned if the majority of people were unhappy with me and my colleagues”.