Poliisi ekutte taata myaka 40 ku misango gy’okudda ku muwala we naamusobyako enfunda eziwera era afundikidde amutisse olubuto mu disitulikiti y’e Kikuube.

Kigambibwa maama w’omwana yanoba bwe yali yaakafuna olubuto kyokka omwana bwe yazaalibwa naaweza emyaka 7, kitaawe yamukimayo ng’asuubiza okumulabirira obulungi.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu kitundu ekyo, Stephen Twinomugisha, omwana agamba nti kitaawe abadde amusobyako buli kiro n’emisana era abadde yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.

Omwana abadde yagumira okumukozesa kyokka abatuuze baalabiddewo ng’omwana afunye obuluto, kwekutegeeza ku bakulembeze ku kyalo ssaako ne Poliisi.

Taata wakati mu kuswala, aguddwako emisango esatu (3) omuli n’okujjula ebitanajja.