• 118
    Shares

Omukyala ow’abaana 7 eyakwattibwa bwe yasangibwa ng’atambula mu ssaawa za Kafyu nasindikibwa mu kkomera Kigo okumala emyezi 3, kkooti enkulu mu Kampala emugyeko emisango ssaako n’okulagira ayimbulwe.

Lillian Aciro nga mutuuze we Namuwongo yakwatibwa mu Gwokuna ne banne 19 era omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabilis yabasindika mu kkomera ku misango gy’okusangibwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu.

Abalala kuliko Rodgers Keyi, Josephat Aceyi , Brenda Akao, Ben Aleper, James Jamel Alumal, Mary Nambi, John Paul Burusi, Felix Nyeko, Jackson Kamwaga, Daniel Muwanguzi, Tonny Kaziba, Isa Wapisa, Hassan Anguzo, Benard Atoroti,  Fred Walusimbi and Josephine Acen. Gasi Madalema, Kerry Owori, Akram Mwanje.

Wabula omulamuzi Wilson Kwesiga owa kkooti enkulu mu Kampala agambye nti omulamuzi Amabilis yalemwa okutegeeza abakwattiddwa emisango emituufu, kwekulagira bonna 20 nga bakulembeddwamu Aciro, okuyimbulwa.

Omulamuzi okusalawo, kidiridde ssenkulu w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Women’s Pro Bono Initiative Primah Kwagala, okuddukira mu kkooti, nga yemulugunya eky’okusiba omukyala Aciro, ali mu kulabirira abaana musanvu (7) ate nga bonna bali mu kazigo kamu.

Munnamateeka David Kabanda agamba nti abantu 20 wadde baali basindikiddwa mu kkomera, baakwatibwa nga bali ku mirimu gyabwe omuli n’okulongoosa Kampala.


  • 118
    Shares
  • 118
    Shares