Eddy Kenzo ayongedde okulaga nti mu Uganda, muyimbi wanjawulo nnyo era asukkulumye nnyo ku banne.

Kenzo agudde mu bintu bw’awereddwa engule ya zzaabu omukutu gwa Youtube.

Engule eweebwa abantu abawezezza abagoberezi abasukka mu kakadde akamu ku mukutu gwa Youtube.

Mu kiseera kino mu Africa, Kenzo yeegasse ku bayimbi omuli Diamond Platnumz, Rayvanny ne Harmonize okuwangula engule ya zzaabu.

Mu kiseera kino Kenzo alina abagoberezi 1,130,000 ku Youtube era y’omu ku bannayuganda abasinga okuyingiza ssente okuva ku U-tube.

Kenzo ali mu ggwanga erya Ivory Coast kalantini gye yamusanga era ali mu kwegayirira gavumenti emukkirize okudda mu Uganda wabula mu kiseera kino tewali muntu yenna akkirizibwa kukomawo mu Uganda kuba ayinza okuleeta obulwadde bwa Kolona.