Munnamawulire Faridah Nakazibwe alaze nti alina engeri ez’enjawulo okwanukula abantu abamuwalampa mu bulamu bwe.
Nakazibwe mu kiseera kino alina obutakaanya n’eyali mukwano gwe Justine Nameere nga byekuusa ku nsonga za laavu.

Olutalo lwa bano baalutandikira ku Facebook, Nakazibwe bwe yateekako ekiwandiiko ng’agamba nti akooye Nameere okumusojjanga ng’aweereza bba Omar Ssali obubaka obumuggya ku mulamwa gw’obufumbo bwabwe.
Nakazibwe alumiriza Nameere okukozesa amannya agatali gage (Jojo Bella) ku Facebook n’aweereza bba obubaka obumwonoona n’ekigendererwa eky’okutta obufumbo bwe wabula Nameere agamba nti ebigambo bya Nakazibwe byabulimba era alina okumwetondera mu lujjudde.

Wabula Nakazibwe alaze nti mwetegefu okulwana entalo mu ngeri yonna era mu kiro ekikeseza olwa leero, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okusindikira abantu bonna abamuwalampa obubaka ng’abuyisa mu luyimba lwa Bobi Wine ‘mazzi muwanvu’ mu Pulogulamu ya NTVDanceParty era agambye nti, “Akayimba ka Mazzi mawanvu akali ku #NTVDanceParty kati nkaweerezza bonna abampalampa“.
Ebigambo bya Nakazibwe biraga nti akooye omuntu yenna okumuwalampa era obubaka bwe bugenze eri abantu bonna omuli ne Nameere.
