Omugagga Olim Charles amanyikiddwa nga  Sipapa atabukidde Ssaabavvulu Balaam Barugahara oluvanyuma lw’okutwala Ashburg Katto ewa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni n’okumukyusa okuva mu kisinde kya People Power okudda mu kibiina kya NRM.

Sipapa agamba nti Ashburg abadde omu ku bavubuka abaludde nga bavuma Pulezidenti Museveni mu ngeri yonna era tagwanidde kutwalibwa mu maaso ge mu kiseera kino.

Agamba nti mu Uganda, mulimu abavubuka bangi nga baagala Pulezidenti Museveni okuva ku mitima gyabwe nga bakozesa amassimu gaabwe okulaga omukwano gwabwe ku Face Book era bebagwanidde okutwalibwa mu maaso ga Pulezidenti Museveni.

Sipapa agamba nti Ashburg yabadde agwana kibooko nga tebannaba kumwaniriza mu kibiina kuba akoze bingi ebivvoola Pulezidenti.

Mungeri y’emu agamba nti asinga Balaam ssente era byonna by’akola mu kiseera kino omuli okuwa Ashburg Kompyuta naye ebisobola.

Vidiyo ya Sipapa