Uganda ezudde abantu 14 nga balwadde Covid-19 kw’abo 1739 abaakebeddwa olunnaku olw’eggulo ku Ssande.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, bonna 14 abazuuliddwa nga balwadde, babadde mu Kalantini.

Kigambibwa obulwadde baabuggya ku ba ddereeva abatambuza ebyamaguzi era Uganda ewezezza abalwadde 212 nga bonna Bannayuganda.

Ku baddereeva 655 abaakebeddwa ku nsalo, bannansi ba 5 bazuuliddwa nga balwadde era bonna baziddwayo mu ggwanga lyabwe.

Ate bantu 1,084 abaakebeddwa okuva mu bitundu ne Kalantini, Minisitule mwe yazudde abantu 14 nga balina Covid-19 kyokka bonna kitegerekese baavudde mu Kalantini.

Mu nsi yonna, abaakafa bali 346,898, abalwadde 5,515,988 ate abawonye bali 2,309,878.