Bya Nalule Aminah
Poliisi y’e Kamuli mu disitulikiti y’e Luuka, ekutte ssemaka myaka 30 ku by’okudda ku mwana wa mukyala we gw’abadde alabirira namusobyako.
Omwana asobezeddwako ali mu gy’obukulu 11 nga mujja na nnyina.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, ssemaka akwattiddwa ye Kimpi Sharifu nga yasobezza ku mwana, mu kiseera nga mukyala we taliwo.
Enanga agamba nti Kimpi aguddwako omusango gw’okujjula ebitanajja era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.
Abatuuze b’e Kamuli bagamba nti Kimpi agamba nti mukyala we okumulumya mu nsonga z’omu kisenge y’emu ku nsonga lwaki yatendewaliddwa okudda ku mwana omuto.