Enzonga z’omuyimbi Edirisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo, ez’okumusibira ebweru w’eggwanga mu ggwanga erya Ivory Coast zituuse mu Palamenti akawungeezi ka leero.
Kenzo eyali bba w’omuyimbi Rema Namakula eyatwalibwa Dr. Hamzah Ssebunya, yali agenze mu ggwanga eryo okuyimba, kyokka omukulembeze w’eggwanga yaggala ensalo n’okuyimiriza ennyonyi ezitambuza abantu ku kisaawe Entebbe, emyezi egisukka 2 ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.
Oluvanyuma lw’omuggalo, Kenzo abadde asula mu Hotero mu ggwanga erya Ivory Coast kyokka akawungeezi ka leero, akubidde sipiika Rebecca Kadaga essimu nga yetaaga obuyambi.

Ku ssimu, Kenzo agambye nti ssente zimuweddeko nga yetaaga okuyambibwa okudda awaka kuba embeera eyongedde okumunyigiriza ate nga takkirizibwa kudda waka mu ggwanga lye.
Mu Palamenti akawungeezi ka leero, Kadaga alambuludde ebyogeddwa wakati we Kenzo.
Mungeri y’emu Kadaga awanjagidde Minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga okulowooza ku nsonga y’okutaasa Kenzo nga bayita mu kweyambisa ekitebe kya Uganda mu kibuga Abuja mu ggwanga erya Nigeria.
Kadaga era asuubiza okutwala ensonga za Kenzo eri omukulembeze w’eggwanga, okulowooza ku nsonga ye, omuyimbi yekka alina BET mu Uganda.
Eddoboozi lya Kadaga