Abakulembeze mu Kampala basabukuludde entekateeka empya, emmotoka ez’olukale kwezirina okutambulira mu kuddamu okutambuza abantu n’okutandiika sabiti ejja ku Lwokuna nga 4, omwezi ogujja Ogwomukaaga.

Okusinzira kw’amyuka Minisita Kampala Benna Namugwanya Bugembe, balina okuteeka mu nkola ebirabiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okutangira abantu okung’anira awamu kuba kiyinza okutambuza Kolona.

Namugwanya mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala, akaatirizza nti omukulembeze w’eggwanga yakirizza emmotoka z’olukale okuddamu okutambuza abantu, kyokka buli mmotoka erina okutambuza abasabaze ekitundu 1 kya 2.

Entekateeka y’okuzza Takizi mu Kampala, buli mmotoka erina okuddamu okuwandisibwa okufuna ppaaka oba siteegi kwerina okutambuliza emirimu, oluguudo kwerina okutambulira ssaako ne baddereeva okufuna Pamiti, ezibakkiriza okusigala mu Kampala nga bakola.

Minisita Namugwanya agamba nti okuwandiisa kutandiika olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano ku kitebe kya KCCA mu Kampala.

Mungeri y’emu agambye nti oluvanyuma lw’okuwandisibwa ku City Hall mu Kampala, buli ddereeva alina okuddukira mu Minisitule y’emirimu n’entambula okufuna Pamiti, eneeba ewandikiddwako enguudo, buli omu zaalina okutambuliramu.

Mu ntekateeka y’okulongoosa ebyentambula mu Kampala n’okulwanyisa omujjuzo, Minisita abikudde ekyama nti abantu bonna abaludde nga bayita abasabaze mu ppaaka ez’enjawulo ne ku nguudo z’omu Kampala, bayimiriziddwa.

Minisita agamba nti okuva nga 4, Ogwomukaaga 2020, teri kuddamu kuyita Takisi mu Kampala wabula okweyambisa ebipande okuwandikiddwa ebitundu.

Ate ku nsonga y’abasambaze abageenda okweyambisa Takisi ne Bbaasi, Minisita alabudde nti bonna balina okwambala Masiki okubakkiriza okulinya.