Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Bukwali mu Monisipaali y’e Fort Portal, omusajja bw’asse mukyala we abadde asemberedde okuzaala.

Omulambo gwa Brendah Atuhaire ali mu gy’obukulu 18 gusangiddwa mu nnyumba mu kitaba ky’omusaayi era okumpi n’omutwe wasangiddwawo akambe akajjudde omusaayi.

Okusinzira ku batuuze, Atuhaire kati omugenzi ne muganzi we baludde nga balina obutakaanya oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okusindika abantu ku muggalo ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona okusasaana.

Omukyala abadde alumirizza bba obutamuwa byetaago ssaako n’okumukanda akaboozi buli kiro.

Omusajja olumaze okutta omukyala, abadde agezaako okwetta wabula Poliisi emutaasizza era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Fort Portal.

Mu ddwaaliro, omusajja bw’abadde awayamu naffe agambye nti mukyala we Atuhaire yamusaba okugyamu olubuto ku myezi 2 nagaana ssaako n’okumulagira okuddako ewaabwe, okutuusa ng’omukulembeze w’eggwanga abaguddewo okudda ku mirimu era nagaana.

Omusajja wakati mu kulukusa amaziga agambye nti mukyala we abadde amwagala nnyo kyokka olw’obutakaanya awaka ssaako n’obusuungu y’emu ku nsonga lwaki amusse.

Ku nsonga eyo, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Rwenzori West, Vincent Twesige agamba nti wadde omusajja atwaliddwa mu ddwaaliro, aguddwako omusango gw’obutemu era bamulinze awone, okumutwala mu kkooti.