Entiisa n’ekiyongobero bibuutikidde abatuuze ku kyalo kye Bweyogere mu Monisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso omusajja ow’ekigaali bw’asse omuntu ku ssaawa nga 7 ez’emisana ga leero.

George William Kamya, 17 abadde omutuuze ku kyalo Ntebetebe, Bweyogerere mu disitulikiti y’e Wakiso  yattiddwa, ow’ekigaali Gilbert Muhumuza bw’amusozze ekyambe ku nsingo.

Okusinzira ku batuuze aberabiddeko n’agaabwe, Kamya kati omugenzi abadde ne mukwano gwe Bashir nga batambula kyokka ne bakoona ekigaali kya Muhumuza abadde atunda ennanaansi ku kigaali okumpi ne Africa Oil Petrol Station e Bweyogere.

Wakati mu kuwanyisiganya ebigambo, ow’ekigaali Muhumuza afumise Kamya akambe ku nsingo, olugudde wansi, asambagadde emirundu 7 naakutuka.

Luke Oweyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agambye nti Muhumuza akwattiddwa, atwaliddwa ku Poliisi y’e Bweyogere ku misango gy’obutemu.

Eddoboozi lya Luke

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2020/05/Luke-Bweyogerere-Final.mp3?_=1