Poliisi, etubuulidde wetuuse mu kunoonyereza ku mukyala ow’olubuto myezi 9 eyasobezeddwako bwe yabadde ageenze mu ddwaaliro okumwekebejja e Kamwokya.

Omukyala amannya gasirikiddwa myaka 23 mutuuze we Kamwokya mu Church Zzooni yagenze mu sikaani mu Kiliniki y’e Kamwokya Christian Caring Community okumwekebejja embeera y’omwana kyokka Omusawo Tumwesigye Willison yamusobezaako nga yefudde apima embeera y’omwana.

Omukyala agamba nti yekengedde embeera z’omusawo Tumwesigye nga yakayingira mu kasenge era olw’amulagidde okugyamu engoye okumwekebejja mu sikaani, yatandikiddewo okumukwatirira nga n’okutuuka mu bitundu by’ekyama yefudde atambuza ekyuma kya sikaani.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, atubuulidde nti Omusawo Tumwesigye akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mukyala era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.

Eddoboozi lya Enanga