Poliisi etandiise okunoonyereza ku musirikale waabwe eyakwatiddwa ku misango gy’okupangisa ekyambalo kya Poliisi ku shs 10,000.

Omusirikale akwattiddwa ye David Kibwika ng’akolera ku Poliisi y’e Nyakaizi mu ggombolola y’e Kakooba mu Monisipaali y’e Mbarara.

Okukwattibwa, kidiridde okupangisa ekyambalo kye ku muntu wabuligyo Reuben Gumisiriza myaka 24.

Gumisiriza baamukwattidde ku “check point” ng’ali ku pikipiki ng’anekaanekanye mu byambalo kya Poliisi ng’awese omukyala, nga talina kiwandiiko kyonna kiraga nti musirikale.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi Samson Kasasira, Gumisiriza akirizza nti yapangisizza ekyambalo kya Poliisi ku 10,000 era omukyala gwe yabadde avuga, yabadde mukyala we.

Ku Poliisi, aguddwako emisango omuli okusaangibwa n’ebintu bya Gavumenti, okwefuula kyatali ate omusirikale Kibwika akwattiddwa ku misango gy’okupangisa ebintu bya Gavumenti.

Wabula Omusirikale Kibwika yegaanye okupangisa ekyambalo kye, era asabye Poliisi okunoonyereza engeri Gumisiriza gye yakifunyemu.

Kigambibwa omuwala mutuuze we Nansana kyokka yali agenze kulaba ku muganzi we.