Munnamaggye Gen. Kasirye Ggwanga afudde enkya ya leero ku Lwokubiri.
Ggwanga afiiridde mu ddwaaliro e Nakasero gy’abadde ku kitanda mu kasenge ak’enjawulo akajjanjabirwamu abalwadde abayi (ICU).

Ggwanga yasooka kufuna okulumizibwa omutwe n’atwalibwa mu ddwaliro ly’amagye e Mbuya omwezi oguwedde kyokka oluvannyuma baamwongerayo mu ddwaaliro e Nakasero okutuusa w’afudde.

Kasirye Ggwanga abadde muwi w’amagezi eri Pulezidenti ku nsonga z’ebyokwerinda mu Buganda. Yazaalibwa mu 1952 e Katakala mu Mityana era afiiridde ku myaka 68.

Yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende okuva mu 2001 okutuuka mu 2006 lwe yawummula. Abadde  abeera ku kyalo Nkene mu Ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana gy’abadde alina faamu.

Amagye yagayingira mu 1972 ku mulembe gwa Idi Amin Dada eyali omukulembeze w’eggwanga lino okuva mu 1971 okutuusa 1979  era yagannyuka mu 2018 ku ddaala lya Major General.

Kasirye Ggwanga kigambibwa alese ekiraamo ekikambwe ku by’obugagga bye ssaako n’engeri y’okumuziika.

Wafiiridde abadde akulembeddemu okulwanyisa abantu bonna abegumbulidde okutema emiti mu ngeri y’okutaakiriza obutonde bw’ensi.