Omwogezi w’ekisinde ki People Power, munnamawulire Joel Ssenyonyi ali mu ssanyu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okuwasa omukyala ku wikendi ya sabiti ewedde ku Lwomukaaga.

Ssenyonyi myaka 32 kigambibwa abadde mberera wabula oluvanyuma lw’okufuna omukyala, attaddewo enjawulo wakati w’abalenzi n’abasajja.

Mu ngeri y’okusiima kabiite we okumugyako embuzzi n’okumuyigiriza okunyumya akaboozi ku myaka gye 32, Ssenyonyi atutte mukyala we okulya obulamu ku kizinga ekimu mu Uganda era mu ngeri y’okulumya abawala abaali bamwegwanyiza, afulumizza ekifaananyi nga bali mu ssanyu.

Kigambibwa mu kulonda kwa 2021, Ssenyonyi y’omu ku basuubirwa okwesimbawo ku ky’obubaka bwa Palamenti e Nakawa.