Omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa ng’omuyimbi Jose Chameleone avuddeyo ku nsonga y’omubaka we Kyadondo East (Bobi Wine) okulya obwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Chameleone abadde ku BBS TV akawungeezi ka leero era ayogedde ku nsonga ez’enjawulo eziri mu ggwanga.

Bobi Wine ne Yoweri Kaguta Museveni
Bobi Wine ne Yoweri Kaguta Museveni

Ku nsonga ya Bobi Wine okuwangula Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Chameleone agambye nti, “nze Bobi Wine mwenyumirizaamu nga omuntu, abantu bangi bazze mu opozisoni naye nga pulezidenti Museveni bamutya naye Bobi Wine akyusizza embeera era bwetutambulira wano tujja kwesiima. Ffenna tuli mu ‘Defiance’ era tuwakkanya pulezidenti Museveni naye tekitugaana kumubanja bintu bya bannayuganda byalina n’okulaba nti tagenda nabyo “.

Simon Byabakama
Simon Byabakama

Ku nsonga y’akakiiko k’ebyokulonda okuwera Kampeyini ng’emu ku ngeri y’okutangira Covid-19, Chameleone agambye nti, “tutidde nnyo Sennyiga Corona so nga tubadde n’ebirwadde ebizibu wano. Agamba nti ebya ‘Scientific elections’ tebikola kubanga amawanga amalala nga Malawi ne Burundi babadde bakuba kampeyini era nga balonze bulungi. ndabanga mwami Simon Byabakama ne mikwano gye abafuba okulaba nga bannayuganda bakubwa embooko ezitabangawo kubanga tugenda kubijjemera. Ndi omu ku bannayuganda abawakkanya ‘Scientific Elections’ kubanga ziyamba abo abali mubifo. Tulina olugendo luwanvu okusomesa bannayuganda ensonga ya ‘Scientific election’ kubanga tulina abantu naddala mikwano gyange abatategeera bya tekinologiya“.

Erias Lukwago
Erias Lukwago

Mu 2021, Chameleone ayagala bwa Loodi meeya bwa Kampala okuggyawo Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago era agambye nti, “Njagala tukyuuse obukulembeze ku KCCA, emirundi gyendabye Loodimeeya Erias Lukwago abadde akaaba n’okukayana. Yatandikira ku Muky. Jennifer Musisi wuuyo mu bakansala ekitegeeza nti ekibuga tekirina bukulembeze bulungi“.