Paasita munnamawulire Joseph Kabuleeta naye avuddeyo okuvuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda mu kulonda kwa 2021.

Okusinzira ku mwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa, abantu abasukka 40 bawandiise nga begwanyiza obwa Pulezidenti.

Olunnaku olwaleero, Kabuleeta naye avuddeyo okulaga bannayuganda mu kiseera kino ye muntu omutuufu agwanidde okudda mu bigere bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.

Agamba nti aludde nga eby’enfuna mu Uganda bimusuza atudde naye kati n’akiraba nga okubitereeza alina kusooka kukwata ntebe y’obwa Pulezidenti.

Kabuleta ng’asinzira ku Serena Conference Centre mu Kampala ategeeza nti okumanya azze amazeeko, tagenda wadde okukola omukago n’omuntu omulala yenna avuganya okuggyako abaagala, okumuwagira.

Ebigambo bya Kabuleta okugaana okwegata n’omuntu yenna okuva ku ludda oluvuganya, kiraga nti naye avuddeyo okulemesa omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine obwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021, okuwa omukisa omunene Pulezidenti Museveni okuwangulira waggulu.