Gavana w’essaaza lye Kirinyaga mu ggwanga erya Kenya Anne Waiguru ali mu kwewozaako ku bigambibwa nti yagobye ddereeva we lwa kuyisa mukka mubi mu mmotoka ye ssaako n’okulya buli ddakika.

Ddereeva agamba nti mukama we, yakomyewo okulinya emmotoka, kwe kumutegeeza nti yabaddemu, omukka omubi namugoba ng’amulumiriza obutaba na mpisa, okuyisa omukka omukyamu, mu mmotoka egula obukadde bwa ssente.

Anne Waiguru
Anne Waiguru

Gavana Waiguru yabadde agobeddwa mu offiisi ku bigambibwa nti yabadde akoze nsobi, okusazaamu endagano ya ddereeva we olw’okuyisa omukka omukyamu wabula akakiiko mu seneti ne kayimiriza eky’okumugoba.

Agamba nti Ddereeva abadde asukkiridde okuva ku mulamwa n’obugayaavu, ekimulemesa okutambuza emirimu ate ng’alina okuwereza abantu be.

Ddereeva eyagobeddwa, agamba nti alina okuddukira mu kkooti, okufuna amazima n’obwenkanya nga eky’okumugoba ku by’okuyisa omukka omukyamu, baamuwayiriza.