Kkooti ya sseemateeka agobye okusaba kwa bakiisa ba Palamenti 11 abaddukira mu kkooti nga bawakanya ekyasalibwawo akakiiko akafuzi mu kibiina kya NRM aka CEC, ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni obutavuganyizibwa mu kamyufu k’ekibiina mu kunoonya omuntu anaakwata bendera ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga, mu kulonda kwa 2021.

Ku balamuzi 5, 4 okuli akola nga ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, n’abalala okuli Cheborion Barishaki, Kenneth Kakuru ne Christopher Izama Madrama bagobye omusango ate omulamuzi Egonda Ntende ayawukanye ku balamuzi banne era agambye nti Museveni okuba ssentebbe wa CEC mu kusalawo ensonga z’ekibiina ku nsonga y’okwesimbawo, kimenya mateeka.

Abalamuzi 4, abagobye omusango bagambye nti mu kkooti yaabwe tewali nsonga ya kutaputa amateeka ku musango ogwatwalibwayo, nga baali balina kuddukira mu kkooti enkulu, okuwuliriza ensonga zaabwe ez’okusazaamu, ebyasalibwawo olukiiko lwa CEC.

Kkooti okuwa ensala yaayo, kidiridde bannakibiina kya NRM, 11 nga bonna bakiise ba Palamenti, omuli Theodore Ssekikubo, Lwemiyaga County, Barnabas Tinkasimire, Buyaga West, John Baptist Nambeshe, Manjiya County, Patrick Oshabe Nsamba, Kassanda North, Mbwatatekamwa Gaffa, Kasambya  County, Samuel Lyomoki,  Workers MP, Silvia Akello, Otuke District, Susan Amero,  Amuria Woman MP, James Acidri,  Maracha East County ne Bildad Moses Adome, Jie County okuddukira mu kkooti, nga bagamba nti byonna ebyasalibwawo CEC, tebiri mateeka.

Nga bakulembeddwamu bannamateeka baabwe aba Alaka and Company Advocates, Niwagaba Advocates and Solicitors ne Barirere, Muhangi and Company Advocates, bonna bagamba nti ekiteeso kya CEC nga February 19th, 2019 ku Chobe Safari Lodge ekya Museveni obutavuganyizibwa mu kibiina, tekyali mateeka.

Mungeri y’emu bagamba nti ekya Nampala wa NRM okubalemesa okugenda e Kyankwanzi mu March, 2019 mu ttabamiruka w’ekibiina nga tebawuliriziddwa nakyo kimenya amateeka.

Okusalawo kwa kkooti, kulaga nti Yoweri Kaguta Museveni alina omukisa okuddamu okwesimbawo mu kulonda kwa 2021 n’okuddamu okulondebwa ng’omukulembeze w’eggwanga, ekintu ekiremesa Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine ne Dr. Kizza Besigye okufuna omukisa ogukulembera ku Uganda wadde bonna balina essuubi.

Ebivudde mu kkooti, buwanguzi bwa Pulezidenti Museveni n’ekibiina kya NRM.