Omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis zaake aliko abasirikale 6 baatutte mu kkooti esookerwako e Mityana ku misango gy’okumusiba mu ngeri emenya amateeka, okumutulugunya ssaako n’okugyemera amateeka.

Abasirikale abatwaliddwa mu kkooti kuliko addumira Poliisi mu bitundu bye Wamala Bob Kagulire, addumira Poliisi y’e Mityana Mwine Mukono.

Abalala kuliko Amudan Twesigye, Musa Walugembe, Isaac Okecho ne Ali Wamanya.

Zaake lwe yakwatibwa nga 19, Ogwokuna, 2020
Zaake lwe yakwatibwa nga 19, Ogwokuna, 2020

Mu kkooti, Zaake ng’akulembeddwamu bannamateeka be Kizza and Mugisha Company advocates agambye nti bwe yali makaage nga 19, Ogwokuna, 2020, abasirikale bamukwata mu ngeri emenya amateeka ku bigambibwa nti yali aggyemedde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni neyenyigira mu kuwa abatuuze emmere ekyali kiyinza okusasaanya Kolona.

Mungeri y’emu agambye nti bwe yakwattibwa, abasirikale baamutulugunya okutuusa nga 29, Ogwokuna, 2020 ku lunnaku lwe yayimbulwa, okumutwala mu ddwaaliro.

Ate munnamateeka we Aron Kizza, agamba nti Zaake baamusiba nga tawereddwa nsonga yonna ssaako n’abasirikale okugyemera ekiragiro kya kkooti, eky’okumuyimbula.

Zaake, agamba nti abantu bangi abakaaba nga batulugunyiziddwa abasirikale, amaggye ssaako ne LDU wabula ne batya okuddumira mu kkooti nga tebalina busoobozi.

Agamba nti mu kiseera kino ye ssaawa okulwanyisa ejoogo erikolebwa, ebitongole ebikuuma ddembe.

Minisita Marion Obiga Kania
Minisita Marion Obiga Kania

Wabula Kinnajjukirwa nti Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga, Marion Obiga Kania bwe yali mu Palamenti ku nsonga za Zaake, yategeeza nti tewali musirikale yenna yamukuba wabula Zaake yeekuba okusiiga Poliisi enziro ne Gavumenti.