Embeera y’omugagga Brain Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White yeeralikirizza famire ye n’abemikwano kuba mu kiseera kino, asizza ku byuma mu ddwaaliro ly’e Nakasero okumala sabiti 2 kyokka embeera ekyali mbi.

Okusinzira ku Isaac Katende omuyambi we, okuva Bryan lwe yatwalibwa mu ddwaaliro abasawo bamwekebejjezza kyokka bakyalemeddwa okuzuula ekituufu ekimuluma era kati balindiridde kinaava Bungereza ewatwaliddwa omusaayi n’ebirala okubyekebejja.

Katende agamba nti mukama we Bryan akaaba obulumi obw’amaanyi mu lubuto era amaze ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’amabwa g’omu lubuto (Ulcers) kyokka talina njawulo yonna.

Mungeri y’emu agamba nti abasawo bakyalemeddwa okuzuula ekituufu ekiruma Bryan era kati ayogera kitono, talya okuggyako okunywa n’eby’okulya bye bayisa mu bupiira.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde abasirikale okuva ku Palamenti bagenda ku ddwaaliro e Nakasero okukakasa oba ddala Bryan White ali ku kitanda oluvanyuma lw’okulemwa okweyanjula mu kakiiko ka Palamenti ak’addembe ly’obuntu okwewozaako ku bigambibwa nti abadde akabasanya abakozi be abawala.